John 15

Yesu gwe Muzabbibu gwennyini

1 a “Nze muzabbibu ogw’amazima, ate Kitange ye mulimi. 2Buli ttabi eriri ku Nze eritabala bibala aliggyako. Naye buli ttabi eribala ebibala, alirongoosa lyeyongerenga okubala. 3 bMmwe kaakano muli balongoofu olw’ekigambo kye mbagambye; 4 cmubeere mu Nze era nange mbeere mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe mutyo nammwe temuyinza kubala bibala bwe mutabeera mu Nze.

5 d “Nze muzabbibu, mmwe matabi. Buli abeera mu Nze nange ne mbeera mu ye oyo abala ebibala bingi. Kubanga awatali Nze temuliiko kye muyinza kukola. 6 eOmuntu bw’atabeera mu nze asuulibwa ebweru ng’ettabi erikaze. Amatabi ng’ago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya. 7 fNaye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga. 8 gBwe mubala ebibala ebingi, muba bayigirizwa bange, ne Kitange, agulumizibwa.

9 h “Mbaagadde nga Kitange bw’anjagala. Noolwekyo munywererenga mu kwagala kwange. 10 iBwe munaagonderanga ebiragiro byange olwo munaabanga munyweredde mu kwagala kwange, nga nange bwe ŋŋondera ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe. 11 jMbategeezezza ebyo mulyoke mujjule essanyu lyange. Era essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 12 kKye mbalagira kye kino nti mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala. 13 lTewali kwagala kusinga okw’omuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. 14 mMuba mikwano gyange bwe mukola bye mbalagira. 15 nOlwo nga sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya bifa ku mukama we. Kaakano mmwe muli mikwano gyange, kubanga mbategeezezza byonna Kitange bye yaŋŋamba. 16 oSi mmwe mwannonda! Wabula Nze nabalonda, mulyoke mubale ebibala ate ebibala eby’olubeerera. Olwo buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange anaakibawanga. 17 pKye mbalagira kye kino nti mwagalanenga.

18 q “Ensi bw’ebakyawanga mumanye nti yasooka kukyawa nze. 19 rSinga mubadde ba nsi, yandibaagadde, naye temuli ba nsi, kubanga nabalonda muve mu nsi, kyeva ebakyawa. 20 sMujjukire kye nabagamba nti, ‘Omuddu tasinga mukama we.’ Kale obanga Nze banjigganya era nammwe bagenda kubayigganyanga. Era obanga baagondera ebigambo byange n’ebyammwe balibigondera. 21 tEbyo byonna balibibakola ku lw’erinnya lyange, kubanga eyantuma tebamumanyi. 22 uSinga sajja ne njogera nabo tebandibadde na musango. Naye kaakano tebalina kya kwewolereza olw’ekibi kyabwe. 23Buli ankyawa aba akyawa ne Kitange. 24 vSinga saakola mirimu egitaakolebwa muntu yenna mu bo tebandibaddeko musango. Naye kaakano balabye emirimu egyo, n’okutukyawa ne batukyawa, Nze ne Kitange. 25 wEkyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, ‘Bankyayira bwereere.’

26 x “Kyokka mmwe ndibatumira Omubeezi okuva eri Kitange, Omwoyo ow’amazima ava eri Kitange era alibategeeza buli ekinfaako. 27 yEra nammwe mulinjulira, kubanga mubadde nange okuva ku lubereberye.”

Copyright information for LugEEEE